Jeremiah 48:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettutumu ly'e Mowabu terikyaliwo. Mu Kesuboni gye bateesereza akabi ak'okumukola nti: ‘Mujje tukisaanyeewo ng'eggwanga.’ Era naawe Madumeni balikubuniza; ekitala kya kukugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mowaabu taddeyo kutenderezebwa; mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti, ‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’ Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa, n’ekitala kirikugoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo. Mu Kesuboni mwe bakiteesereza obubi, ‘Mujje tukimalewo kireme okuba eggwanga!’ Era naawe Madumeni, ayi olisirisibwa; ekitala kirikucocca.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitiibwa kya Mowaabu kiweddewo. Abalabe bawambye Hesubooni, gye bateesereza okusaanyaawo eggwanga lya Mowaabu. Ekibuga ky'e Madumeeni kisirisiddwa, amagye gajja kukirumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo; bakiteeserezza obubi mu Kesubooni, nti Mujje tukimalewo obutaba ggwanga. Era naawe, si Madumeni, olisirisibwa; ekitala kirikucocca.