Jeremiah 48:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mowabu afa ensonyi, kubanga asesegguddwa. Mukube ebiwoobe, muleekaane! Mulangirire mu Arunoni nti Mowabu azikiriziddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese. Mukaabe muleekaane! Mulangiririre mu Alunoni nti Mowaabu kizikiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese; wowoggana okaabe! Mukibuulire mu Alunoni, nti, Mowaabu ezikiriziddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaabaddamu nti: ‘Ensi Mowaabu emenyeddwa, eswadde. Muteme emiranga, mukaabe ku lubalama lw'Omugga Arunoni, nti Mowaabu ezikiriziddwa!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese: wowoggana okaabe; mukibuulire mu Alunoni nga Mowaabu bakizisizza.