Jeremiah 48:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ejjembe lya Mowabu balitemyeeko, n'omukono gwe gukutuse, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako, n’omukono gwe gumenyese,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaanyi ga Mowaabu gamenyese, obuyinza bwayo buzikiridde, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaanyi ga Mowaabu gamenyese, obuyinza bwayo buzikiridde. Nze mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako, n'omukono gwe gumenyese, bw'ayogera Mukama.