Jeremiah 48:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mumutamiize, kubanga yeewanika ku Mukama. Mowabu ayavulire mu bisesemye bye, afuuke eky'okusekerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mumutamiize; kubanga ajeemedde Mukama. Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye, era asekererwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mutamiize; kubanga yeegulumiriza ku Mukama; olwo Mowaabu alyoke yekulukuunye mu bisesemye bye, era naye alisekererwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mutamiize Mowaabu, kubanga enjeemedde. Mowaabu eryekulukuunya mu bisesemye byayo, era nayo erisekererwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumutamiize; kubanga yeegulumizanga eri Mukama: ne Mowaabu alyekulukuunya mu bisesemye bye, era naye alisekererwa.