Jeremiah 48:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twawulira ku kwekuza kwa Mowabu - kwekuza kusuffu - ku lunkulu lwe! ku kwekuluntaza kwe! ku kwewanika kwe! ne ku kwegulumiza kw'omutima gwe!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tuwulidde amalala ga Mowaabu amalala ge agayitiridde n’okwemanya, okwewulira kwe era n’okweyisa kwe era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpulidde okwekulumbaza okw'ab'e Mowaabu. Beekulumbaza nnyo, beekuza, ba lwetumbu, ba lunkulu era ba mputtu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe.