Jeremiah 48:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyenva nkubira Mowabu ebiwoobe; olwa Mowabu yenna ndeekaana; nkaabira abantu b'e Kiri-Kareseti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nkaabirira Mowaabu, olwa Mowaabu yenna nkaaba, nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennaava nkungubagira Mowaabu; weewaawo n'akabira Mowaabu yenna, era abasajja ab'e Kirukeresi mbakabira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennava nkungubagira buli Mumowaabu, n'abantu b'e Kiruheresi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennaava mpowogganira Mowaabu; weewaawo, naaleekaanira Mowaabu yenna: abasajja ab'e Kirukeresi be baiinnakuwalira.