Jeremiah 48:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkukaabira n'okusinga Yazeri, ggwe omuzabbibu gw'e Sibuna! Amatabi go gaayagaagala ne gasukka n'ennyanja; gatuuka ne ku nnyanja y'e Yazeri. Omunyazi agwiridde ebibala byo eby'ekyeya n'amakungula go ag'emizabbibu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba, ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna. Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja; gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri. Omuzikiriza agudde ku bibala byo ebyengedde era n’emizabbibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusinga ne Yazeri, nkukaabira gwe omuzabbibu ogw'e Sibuma! Amatabi go gaayita ku nnyanja, ne gaatuukira ddala e Yazeri; naye omuzikiriza agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndikaabira ab'e Sibuma n'okusinga ab'e Yazeri! Ggwe ekibuga ky'e Sibuma, oli ng'omuzabbibu ogw'amatabi agatuuka ku Nnyanja Enfu, era agatuuka n'e Yazeri! Naye omuzikiriza agudde mu bibala byo eby'ekyeya ne mu makungula go!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naakukaabira ggwe amaziga, ai omuzabbibu ogw'e Sibuma, nga nkira okukaaba kwa Yazeri: amatabi go gaayita ku nnyanja, gaatuuka ne ku nnyanja ya Yazeri: omunyazi agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa bye.