Jeremiah 48:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essanyu n'okujaguza bikomye mu nnimiro okuva mu nsi y'e Mowabu. Nkomezza evviini mu masogolero; omusogozi takyakuba buluulu, obuluulu tebukyali buluulu bwa ssanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro ne ku bibanja bya Mowaabu. Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero; tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu. Newaakubadde nga waliyo okuleekaana, okuleekaana okwo si kwa ssanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'essanyu n'okujaguza biggyiddwa ku nnimiro engimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero, tewakyali asogola mwenge, ng'aleekaana; olw'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essanyu n'okujaganya biggyiddwa mu nsi engimu eya Mowaabu. Nkomezza omwenge gw'emizabbibu okukulukutira mu masogolero. Tewakyali asogola mwenge, ng'aleekaana olw'essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'essanyu n'okujaguza biggiddwa ku nnimiro eŋŋimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero: tewaliba alisamba ng'aleekaana; okuleekaana kuliba nga si kuleekaana.