Jeremiah 48:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebiwoobe byabwe bisituse okuva e Kesuboni okutuuka e Elewale n'e Yawazi, n'okuva e Zowari okutuuka e Koronayimu, Egulati-Selisiya, n'amazzi g'e Nimirimu gakalidde ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi. Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya, kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'e Kesuboni ne Ereyale bakuba ebiwoobe ne biwulirwa okutuuka e Yakazi. Biwulirwa n'ab'e Zowaali era ne mu Kolonayimu, ne mu Egulasuserisiya; kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago gakalidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ab'e Hesubooni ne Eleyaale bakuba ebiwoobe ne biwulirwa okutuuka n'e Yakazi. Biwulirwa n'ab'e Zowari era ne mu Horonayimu, ne mu Egulaati Selisiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku kuleekaana kwa Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n'okutuuka ku Yakazi, baleese eddoboozi lyabwe, okuva ku Zowaali okutuuka ku Kolonayimu, okutuuka ku Egulasuserisiya: kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago galirekebwawo.