Jeremiah 48:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Mowabu nzija kumalamu buli yenna atambirira ku bifo ebigulumivu n'abanyookeza balubaale obubaani, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiggyawo abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu, ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kukomya ab'e Mowaabu okuwaayo ebitambiro ebyokebwa, n'okwotereza obubaane balubaale baabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane.