Jeremiah 48:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'olw'ekyo omutima gwange gukungubagira Mowabu ng'endere; omutima gwange gukaabira abasajja b'e Kiri-Kareseti ng'endere, n'olw'ekyo obugagga bwe baafuna buzikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere; gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi. Obugagga bwe baafuna buweddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olw'ekyo omutima gwange gukungubagira Mowaabu ng'emirere gy'abasajja ab'e Kirukeresi, bw'ebutyo obugagga bwe bafuna buzikiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyenva nkungubagira Mowaabu era n'abantu b'e Kiru Eresi, ng'omuntu afuuwa ku ndere oluyimba olw'ennaku, kubanga buli kintu kye balina kizikiridde!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwange kyeguva guvugira Mowaabu ng'emirere abasajja ab'e Kirukeresi: ebintu ebingi bye yafuna kyebivudde bizikirira.