Jeremiah 48:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti buli mutwe mumwe, ba buli kirevu kimwereddwa, emikono gyonna gijjudde emisale, ne mu kiwato beesibye ebikutiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mutwe mumwe na buli kirevu kisaliddwako; buli mukono gutemeddwako na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Kubanga buli mutwe gumwereddwa era n'abuli kirevu kimwereddwa; ku mikono gyonna kuliko emisale, era ne mu biwato mulimu ebibukutu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna bamweddeko enviiri, basazeeko n'ebirevu! Beesaze emisale ku mikono, era bambadde ebikutiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli mutwe guliko ekiwalaata, na buli kirevu kisaliddwa: ku mikono gyonna kuliko ebisale, ne mu biwato mulimu ebibukutu.