Jeremiah 48:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku busolya bw'ennyumba zonna mu Mowabu, ne mu mpya zaayo biwoobe byokka by'owulira, kubanga Mowabu mmwasizzayasizza; ali ng'ensumbi etakyaliko gw'egasa, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu ne mu bifo awakuŋŋaanirwa, tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga, kubanga njasizzayasizza Mowaabu ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ntikko ze nnyumba zonna eza Mowaabu, ne mu nguudo zaayo zonna waliwo okukungubaga; kubanga njasizza Mowaabu ng'ekibya ekitalina akifaako, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ntikko z'amayumba mu Mowaabu ne mu nguudo zaayo zonna, waliwo kukungubaga, kubanga njasizza Mowaabu ng'ekibya ekitasanyusa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku nnyumba zonna eza Mowaabu waggulu ne mu nguudo zaayo wonna wonna waliwo okukungubaga: kubanga mmenye Mowaabu ng'ekibya ekitasanyusa, bw'ayogera Mukama.