Jeremiah 48:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'asesegguddwa! Nga bakuba ebiwoobe! Nga Mowabu adduse olw'ensonyi! Bw'atyo Mowabu afuuse eky'okusekerera, ekyesisiwaza eri bonna abamwetoolodde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba! Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu! Mowaabu afuuse kyakusekererwa, ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga kimenyeddwa! Nga bakungubaga! Nga Mowaabu akyusizza enkoona n'ensonyi! Bw'atyo Mowaabu afuuse kusekererwa era ekitiisa eri abo bonna abamwetoolodde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mowaabu abetenteddwa, abantu baaziirana! Kaakati efuuse matongo, abagyetoolodde beesekera! Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga kisuuliddwa! nga bawowoggana! Mowaabu ng'akyusizza enkoona n'ensonyi! kale Mowaabu alifuuka wa kusekererwa era wa kukeŋŋenterera eri abo bonna abamwetoolodde.