Jeremiah 48:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Laba, empungu ekkirira okukwakkula eyanjululizza ebiwaawaatiro byayo ku Mowabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: “Laba! Empungu ekka, ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, alibuuka ng'empungu era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Eggwanga lirirumba Mowaabu, ng'empungu ebuuka ng'eyanjuluzza ebiwaawaatiro byayo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, alibuuka ng'empungu, era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu.