Jeremiah 48:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga birikwatibwa, n'ebigo biriwambibwa, ku olwo emitima gy'abatabaazi ba Mowabu giriba ng'omutima gw'omukazi mu bulumi bw'okuzaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga birikwatibwa n’ebigo biwambibwe. Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga biritwalibwa n'ebigo biriwambibwa. Omutima gw'abalwanyi ba Mowaabu guliba ku lunaku olwo, ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebibuga n'ebigo ne biwambibwa. Ku lunaku olwo, abaserikale ba Mowaabu balitya ng'omukazi alumwa okuzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keriyoosi kimenyeddwa, n'ebigo babisonookerezza, n'omutima gw'abasajja ab'amaanyi aba Mowaabu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi bw'alumwa okuzaala.