Jeremiah 48:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ntiisa, bunnya, kitimba bye bikutuukiridde, bantu ba Mowabu, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, mmwe abantu ba Mowaabu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe atuula mu Mowaabu! bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entiisa n'obunnya n'emitego birinze abantu ba Mowaabu. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe, ai ggwe atuula mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama.