Jeremiah 48:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alidduka entiisa aligwa mu bunnya; aliba avudde mu bunnya aligwa mu kitimba, kubanga Mowabu nzija kumutuusa mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli alidduka entiisa aligwa mu bunnya, n’oyo aliba avudde mu bunnya alikwatibwa omutego; kubanga ndireeta ku Mowaabu omwaka gw’okubonaabona kwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika. Kubanga ndireeta ebintu bino ku Mowaabu mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli agezaako okudduka entiisa, aligwa mu bunnya, n'oyo ava mu bunnya, alikwatibwa mu mutego, kubanga ntaddewo ekiseera eky'okuzikiririzaamu Mowaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika: kubanga ndireeta ku ye, ku Mowaabu, omwaka ogw'okujjirwa kwabwe, bw'ayogera Mukama.