Jeremiah 48:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abadduka bayimiriddeko mu kittuluze kya Kesuboni nga bakoowu; anti omuliro guwamatuse mu Kesuboni, ekitawuliro kiva wakati mu Sikoni; gwokya obwenyi bwa Mowabu, obuwompo bw'abaana abataaluufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kisiikirize kya Kesuboni, abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi, kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni, era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu, n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kisiikirize kye Kesuboni, abadduka bayimirira nga baweddemu amaanyi, kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, n'ennimi z'omuliro zivudde mu nnyumba ya Sikoni, era gwokezza ensonda za Mowaabu, n'engule y'abantu abasobeddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abadduka beewogomako mu Hesubooni, nga baweddemu amaanyi, kubanga Mowaabu kyaka omuliro, n'olubiri lwa Sihoni lwaka omuliro. Omuliro gwokezza ensalo n'entikko z'ensozi ez'abantu ba Mowaabu, abaagazi b'entalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abadduka bayimirira nga tebalina maanyi wansi w'ekisiikirize kya Kesubooni: kubanga omuliro guvudde mu Kesubooni, n'ennimi z'omuliro zivudde wakati mu Sikoni, era gwokezza ensonda ya Mowaabu, n'obwezinge bw'abo abayoogaana.