Jeremiah 48:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ndikomyawo abasibe ba Mowabu gye bujja, Omukama y'agamba.” Okulamulibwa kwa Mowabu wano we kukoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu mu nnaku ezijja,” bw’ayogera Mukama Katonda. Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ndikomyawo emikisa gya Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu gukoma wano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye gye bujja, ndizzaawo ebirungi bya Mowaabu.” Ebyo bye byogerwa ku Mowaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ndikomyawo obusibe bwa Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu we gukoma wano.