Jeremiah 48:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bambuka bakutte ery'e Lukiti, bakaaba, balira nga bwe bagenda; nga bakkirira e Koronayimu, emiranga gy'okuzikirizibwa giwulirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi, nga bwe bakungubaga ku luguudo olugenda e Kolonayimu, emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga awayambukirwa e Lukisi, bagenda nga bakaaba amaziga; kuba awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde okukaaba okw'okuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalinnyalinnya Luhiti, bagenda bakaaba amaziga. Bakuba ebiwoobe olw'obuyinike, nga baserengeta Horonayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga balyambukira awalinnyirwa e Lulusi nga bakaaba amaziga agatata; awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde obuyinike obw’okukaaba olw’okuzikirira.