Jeremiah 48:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe weesiga bye wakola n'obugagga bwo, naawe ojja kukwatibwa, ne Cemosi aligenda mu buwaŋŋanguse, ko ne bakabona be n'abakungu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe, nammwe mulitwalibwa ng’abaddu, ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, ogenda kutwalibwa; ne Kemosi alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mowaabu,edda weesiganga amaanyi go n'obugagga bwo. Naye kaakano naawe oli wa kuwangulwa. Lubaale wo Kemosi alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, era naawe olikwatibwa: ne Kemosi alivaayo aligenda mu busibe, bakabona be n'abakungu be wamu.