Jeremiah 48:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunyazi alituuka ku buli kibuga, tewali kibuga kinaatalizibwa. Ekiwonvu kya kuvunjaga n'emiseetwe gya kwayiibwa, kubanga Omukama ayogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuzikiriza alirumba buli kibuga, era tewali kibuga kiriwona. Ekiwonvu kiryonoonebwa n’olusenyu luzikirizibwe kubanga Mukama ayogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuzikiriza alituuka mu buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era ekiwonvu kirisanyizibwawo n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Azikiriza talitaliza kibuga. Ekiwonvu n'olusenyi birizikirizibwa. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omunyazi alituuka ku buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era n'ekiwonvu kiribula, n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera.