Jeremiah 48:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mowabu muwe ebiwaawatiro kubanga alibuuka n'agenda, n'ebibuga bye bya kufuula matongo, nga temukyali asulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende kubanga alifuuka matongo, ebibuga bye birizikirizibwa, nga tewali abibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke agende; ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali atuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mowaabu eneetera okuzikirira! Mugisimire entaana! Ebibuga byayo bisigale matongo omutakyali babibeeramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke yeegendere: n'ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali wa kutuulamu.