Jeremiah 49:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Bammoni: Omukama kino ky'agamba: “Kazzi Yisirayeli talina baana ba bulenzi? Kazzi talinaawo basika? Lwaki kale Milukomu yatwala Gaadi? Lwaki abantu be be basenze mu bibuga byayo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Isirayiri terina baana balenzi? Terina basika? Lwaki Malukamu atutte Gaadi? Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikwata ku baana ba Amoni, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Isiraeri talina baana ba bulenzi? Talina musika? Kale Malukamu kiki ekimwefuza Gaadi, ne batuula mu bibuga byayo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama bye yayogera ku Bammoni: “Tewali basajja mu Yisirayeli? Tewali bayinza kutaasa nsi yaabwe? Kale lwaki baleka abantu abasinza Milukomu okwefuga ekitundu ky'ab'Ekika kya Gaadi, ne bakisengamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eby'abaana ba Amoni. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri talina baana ba bulenzi? talina musika? kale Malukamu kiki ekimuliisizza Gaadi, n'abantu be batuula mu bibuga byayo?