Jeremiah 49:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze Ezawu mmubikkudde, njolese obufo gye yeekukuma; takyayinza kwekweka. Abaana be bazikiridde, ko n'eŋŋanda ze ne baliraanwa be; takyaliwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ndyambula Esawu mwerule; ndizuula ebifo bye mwe yeekweka, aleme kwekweka. Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira, era wa kuggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze nnyambudde Esawu ne muleka bwereere, mbikkudde ebifo bye bye yeekwekamu, era takyayinza kwekweka. Abaana be baazikiriziddwa, bwe batyo ne baganda be ne baliraanwa be, era naye takyaliwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Nze nnyambulidde ddala bazzukulu ba Esawu ne mbaleka bwereere, ne mbikkula ebifo bye beekwekamu, nga tebakyayinza kwekweka. Abantu ba Edomu bazikiriziddwa bonna, tewasigaddeewo n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze mmwambudde Esawu, mbikkudde ku bifo bye eby'ekyama, so taliyinza kwekweka: ezzadde lyo linyagiddwa ne baganda be ne baliraanwa be, so ye taliiwo.