Jeremiah 49:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndayidde obulamu bwange, Omukama y'agamba, Bozura kijja kufuuka matongo, ekintu ekyesisiwaza, ekivumo era ekikolimo, n'ebibuga byakyo byonna biriba malungu emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, nti ekibuga Bozula kirifuuka ekyennyamiza, n'ekivume n'amatongo n'ekikolimo; n'ebibuga byayo byonna binaabanga matongo ga lubeerera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nneerayiridde nzennyini nti ekibuga Bozura kirifuuka ekyennyamiza, matongo, kivumo, era kikolimo. N'ebyalo ebiriraanyeewo biriba matongo ga lubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, nga Bozula kirifuuka kyewuunyo n'ekivume n'amatongo n'ekikolimo; n'ebibuga byayo byonna binaabanga matongo agataliggwaawo.