Jeremiah 49:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nfunye obubaka okuva ew'Omukama, omubaka abusindise eri amawanga nti: ‘Mwekuŋŋaanye mumulumbe, musituke mulwane.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda. Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti, “Mwekuŋŋaanye mukirumbe! Mugolokoke mukole olutalo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpulidde ebigambo ebivudde eri Mukama, era n'omubaka atumiddwa mu mawanga, ng'ayogera nti, “Mwekuŋŋaanye mukitabaale, musituke mulwane!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Edomu, mpulidde obubaka obuva eri Mukama. Atumye omubaka okutegeeza amawanga gakuŋŋaanye amagye gaago okukulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpulidde ebigambo ebivudde eri Mukama, n'omubaka atumiddwa mu mawanga, ng'ayogera nti Mwekuŋŋaanye mukitabaale mugolokoke mulwane.