Jeremiah 49:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entiisa gy'okuba n'amalala g'omutima gwo bikulimbye, ggwe asula mu mpampagama z'olwazi, ggwe eyawamba entikko z'obusozi, ekisu kyo ne bw'olikiwanika waggulu ng'empungu, era ndikuwanulayo, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entiisa gy’oleeta n’amalala g’omutima gwo bikulimbye, mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja, mmwe ababeera waggulu mu nsozi. Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entiisa gyoyolesa ekulimbye, era n'amalala ag'omu mutima gwo, ggwe atuula mu njatika ez'omu lwazi, eyeekwata entikko y'olusozi. Naye ne bw'onoozimba ekisu kyo awagulumivu, okwenkana n'empungu, era ndikukkakkanya nga nkuwanulayo, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwekulumbaza kwo kukulimbye. Tewali akutya nga ggwe bw'olowooza. Obeera mu njatika ez'omu lwazi, waggulu ku ntikko z'ensozi. Naye ne bw'onoobeera waggulu ng'empungu, Mukama alikuwanulayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eby'okutiisa kwo, amalala ag'omu mutima gwo gakulimbye, ai ggwe atuula mu njatika ez'omu lwazi, eyeekwata entikko y'olusozi: ne bw'onoozimba ekisu kyo awagulumivu, okwenkana n'empungu, era ndikukkakkanya nga nkuggyayo, bw'ayogera Mukama.