Jeremiah 49:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Edomu alifuuka matongo, ekintu ekyesisiwaza; buli muyise aliwuniikirira n'afuuwa ekiwa bw'aliraba ebiwundu bye byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Edomu kirifuuka kyerolerwa, abo bonna abayitawo balyewuunya batye olw’ebiwundu bye byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Edomu alifuuka kyewuunyo, buli anaayitangawo aneewuunyanga era anaasoozanga olw'ebibonoobono byayo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Akabi akalituuka ku Edomu, kaliba ka ntiisa, buli anaayitangawo okumpi, aneewuunyanga n'awuniikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale Edomu alifuuka kyewuunyo: buli anaayitangawo aneewuunyanga era anaasoozanga ebibonobono byonna ebyayo.