Jeremiah 49:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ng'empologoma efubutuka mu bisaka by'oku Yorudani okulaga mu ddundiro eddungi, bwe ndibagobawo mu kabanga bubanga. Ani mulondobe gwe ndissaawo ku lwa kino? Ani kale annenkana? Ani alimpawaabira? Era musumba ki asobola okuŋŋumira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani okugenda mu muddo omugimu, ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro. Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino? Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza? Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba ng'empologoma eva mu bibira bya Yoludaani, okulumba amalundiro g'endiga ag'amaanyi, bw'entyo mangu ago ndimuddusa okumuvaako; era ndironda gwe ndyagala mubo okubafuga. Kubanga ani afaanana nga nze? Ani ayinza okumpozesa? Omusumba aluwa ayinza okuyimirira mu maaso gange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu eby'oku Mugga Yorudaani, n'erumba amalundiro amalungi, nange bwe ndijja ne ngoba Abeedomu mu nsi yaabwe amangwago. Olwo omukulembeze gwe ndironda ye alifuga mu Edomu. Ani ayinza okwegeza ku Nze? Ani ayinza okunvuganya? Mufuzi ki ayinza okumpakanya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, alyambuka ng'empologoma eva mu malala ga Yoludaani okulumba ekifo eky'okubeeramu eky'amaanyi; naye ndikimuddusa mangu ago; era buli alirondebwa oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze? era ani ananteekerawo ekiseera? era omusumba aluwa anaayimirira mu maaso gange?