Jeremiah 49:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ennaku zijja, Omukama y'agamba, lwe ndirawira Rabba ow'Abammoni enduulu y'olutalo; kirifuuka ntuumu y'amafunfugu n'ebyalo byakyo biriteekerwa omuliro. Olwo Yisirayeli aligobawo abaamugobawo, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo ku Labba eky’abawala ba Amoni. Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu, n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro. Isirayiri eryoke egobere ebweru abo abagigoba,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiwuliza eŋŋoma z'olutalo nga bazirayiza mu Labba, ekibuga eky'abaana ba Amoni; era kirifuuka kifunvu ekyalekebwawo, n'ebyalo byakyo biryokebwa omuliro: kale Isiraeri alifuga abo abaamufuganga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekiseera kijja kutuuka, lwe ndiwuliza eŋŋoma z'olutalo nga zirayira mu Rabba, ekibuga ky'Abammoni ekikulu. Era kirirekebwa matongo, n'abantu baamu balyokebwa omuliro. Olwo Yisirayeli alyeddiza ekitundu kye ekyamunyagibwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiwuliza eŋŋoma nga bazirayiza Labba eky'abaana ba Amoni; era kirifuuka kifunvu ekyalekebwawo, ne bawala baamu balyokebwa omuliro: kale Isirareri lw'alirya abo abaamulyanga, bw'ayogera Mukama.