Jeremiah 49:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno muwulire Omukama ky'ateeserezza Edomu, ne by'alowooleza abasula mu Temani: ebijuujulu mu ggana balibiwalaawala; amalundiro gaabwe aligazikiririza ddala olw'okubeera bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu, kyategekedde abo abatuula mu Temani. Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa, alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale muwulire okuteesa, Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde okukola ku abo abatuula mu Temani, mazima n'abaana abato ab'omu kisibo balikululibwa, mazima ekisibo kiryewuunya olw'ebyo ebikituuseeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale muwulire kye nteesezza okukola ku bantu ba Edomu, ne kye mmaliridde okukola ku bantu b'omu Kibuga Temani. N'abaana baabwe abato balikululibwa, buli omu ne yeesisiwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde eri abo abatuula mu Temani: mazima balibakulula, era n'abaana abato ab'omu kisibo mazima alizisa ekifo kye babeeramu wamu nabo.