Jeremiah 49:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ddoboozi ly'okugwa kwabwe ensi erikankana, Eddoboozi ly'omulanga gwe liriwulirwa ne ku nnyanja ey'Ebiwuuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baligwa ensi erikankana, emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'eddoboozi ery'okuggwa kwabwe ensi erikankana, eddoboozi ly'okukaaba kwabwe, liwulirwa ku Nnyanja Emmyufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edomu bw'aligwa, walibaawo okwedomola okulikankanya ensi, n'eddoboozi ly'okukaaba kwabwe liriwulirwa ku Nnyanja Emmyufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ekankana olw'eddoboozi ery'okugwa kwabwe; waliwo okuleekaana, eddoboozi lyakwo ne liwulirwa mu Nnyanja Emmyufu.