Jeremiah 49:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, ajja kwambuka akwakkule ng'empungu, ayanjululize ebiwaawaatiro bye ku Bozura. Ku olwo emitima gy'abatabaazi ba Edomu giriba ng'omutima gw'omukazi mu bulumi bw'okuzaala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira, n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula. Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, omu alirinnya n'abuuka ng'empungu n'ayanjuluza ebiwaawaatiro bye okulwanyisa Bozula, era omutima gw'abalwanyi ba Edomu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulabe alirumba Bozura ng'empungu ekka ng'eyanjuluzza ebiwaawaatiro. Ku lunaku olwo abaserikale ba Edomu balitya ng'omukazi alumwa okuzaala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, alirinnya n'abuuka ng'empungu n'ayanjuluza ebiwaawaatiro bye okulwanyisa Bozula: n'omutima gw'abasajja ab'amaanyi aba Edomu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala.