Jeremiah 49:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Damasiko: “Kamati ne Arupadi biwuniikiridde, kubanga bafunye amawulire amabi; omutima gubaweddemu, bafuukuuse ng'ennyanja etesobola kuteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikwata ku Damasiko: “Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi, kubanga biwulidde amawulire amabi. Bakeŋŋentereddwa, batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikwata ku Ddamasiko. Kamasi ne Alupadi basobeddwa, kubanga bawulidde ebigambo ebibi; basaanuuka olw'okutya, batabuse ng'ennyanja eteyinza kuteeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama bye yayogera ku Damasiko: “Ab'omu bibuga Amati ne Arapaadi beeraliikiridde, era basobeddwa, kubanga bafunye amawulire agatiisa. Okweraliikirira kubasiikudde emitima, ng'amayengo bwe gasiikuula ennyanja. Tebayinza kutereera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eby'e Ddamasiko. Kamasi kwatiddwa ensonyi ne Alupadi; kubanga bawulidde ebigambo ebibi, basaanuuse: ku nnyanja kuliko obuyinike; teyinza kuteeka.