Jeremiah 49:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavubuka baamu baligwa mu nguudo zaakyo, n'abatabaazi baakyo bonna balizikirizibwa lu lunaku olwo, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo, n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, era abalwanyi be bonna balizikirizibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo abavubuka baakyo balittirwa mu nguudo zaakyo, n'abaserikale baakyo bonna balizikirizibwa. Bwe ntyo bwe ŋŋamba Nze Mukama Nnannyinimagye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, n'abasajja bonna abalwanyi balisirisibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye.