Jeremiah 49:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikoleeza omuliro mu bbugwe wa Damasiko, ne gusenkenya ebigo bya Beni-Adadi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro; gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Ddamasiko, era gulyokya ebifo eby'amaanyi ebya Benukadaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditeekera omuliro ku bisenge bya Damasiko, ne gwokya amayumba ga Kabaka Benadaadi. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikuma omuliro mu bbugwe w’e Ddamasiko, era gulyoka amayumba ga Benukadaadi.