Jeremiah 49:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Kedari n'obwakabaka bw'e Kazori Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni bwe yawangula: “Musituke, mulumbe Kedari; muzikirize abantu b'ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Golokoka, olumbe Kedali ozikirize abantu be bugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikwata ku Kedali n'eby'obwakabaka bwa Kazoli, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yakuba. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti: “Musituke mulumbe Kedali! Muzikirize abantu ab'ebuvanjuba!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama bye yayogera ku Kika kya Kedari ne ku bitundu ebifugibwa Azori, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya bye yawangula: “Mulumbe abantu b'e Kedari, muzikirize ekika ky'abantu b'ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebya Kedali n'eby'obwakabaka bwa Kazoli Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bwe yakuba. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mugolokoke mwambuke e Kedali, munyage abaana ab'ebuvanjuba.