Jeremiah 49:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weema zaabwe n'amagana gaabwe biriwambibwa, amatundubaali gaabwe n'ebyabwe byonna, ko n'eŋŋamiya zaabwe biritwalibwa. Balibaleekaanira nti: ‘Ntiisa ku njuyi zonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa; enju zaabwe ziryetikkibwa n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe. Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti, ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eweema zaabwe n'ebisibo byabwe biritwalibwa, entiimbe zaabwe n'ebintu byabwe byonna, eŋŋamira zaabwe tezikyabagasa, era abantu balibakabirira nti, ‘Entiisa ebali ku njuyi zonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munyage eweema zaabwe n'embuzi zaabwe, mutwale entimbe zaabwe, n'ebintu ebirala mu weema zaabwe. Mutwale eŋŋamiya zaabwe, mugambe abantu nti: ‘Entiisa ebali ku njuyi zonna!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eweema zaabwe n'embuzi zaabwe balizitwala; balyetwalira bo bennyini amagigi gaabwe n'ebintu byabwe byonna n'eŋŋamira zaabwe: era balibalangira nti Entiisa eri ku njuyi zonna.