Jeremiah 49:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mudduke, mudume nnyo, mwevumbe empampagama, mmwe ababeera mu Kazori, Omukama y'agamba, kubanga Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni abateeserezza ekintu, alowoozezza eky'okubakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mudduke mwekukume mangu! Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe; ategese okubalumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mudduke, mutambuliretambulire wala, mwekweke wansi, mmwe ababeera mu Kazoli! bw'ayogera Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni abateeserezza ebigambo, era abasalidde amagezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu be Azori, Nze Mukama mbalabula nti mudduke, mugende mwekweke wala, kubanga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya abeekobedde okubakola akabi, era agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mudduke mutambuletambule wala mwekweke wansi, mmwe ababeera e Kazoli, bw'ayogera Mukama; kubanga Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni abateeserezza ebigambo, era abasalidde amagezi.