Jeremiah 49:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋamiya zaabwe zirifuuka omunyago, n'amagana gaabwe galifuuka olwayo. Ndibasaasaanyiza mu buli nsonda, abo abakomola enviiri mu bwenyi; ndibaleetera obuyinike okuva ku buli ludda, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa, n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe. Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala, mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eŋŋamira zaabwe ziriba munyago, n'amagana gaabwe ag'ente ga kwegabanya. Ndisaasaanyiza eri buli mpewo abo abamwa ensonda z'enviiri zaabwe, era ndibaleetako obuyinike okuva ku njuyi zonna, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munyage eŋŋamiya n'ensolo zaabwe endala zonna. Nja kusaasaanyiza mu njuyi zonna abantu abo abasala ku nviiri zaabwe ne baziyimpawaza. Era ndibatusaako akabi nga kava mu njuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eŋŋamira zaabwe ziriba munyago, n'olufulube lw'ensolo zaabwe luliba lwa kugereka: era ndisaasaanyiza awali empewo zonna abo abamwa oluge; era ndireeta obuyinike bwabwe okubafuluma enjuyi zonna, bw'ayogera Mukama.