Jeremiah 49:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Ŋŋenda okumenya omutego gwa Elamu, luwaga w'amaanyi gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, ensibuko y'amaanyi gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nditta abalasi b'obusaale bonna, abafudde Elamu ey'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, bwe bwesige obw'amaanyi gaabwe.