Jeremiah 49:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndisindikira Elamu empewo ennya, okuva mu nsonda ennya ez'eggulu; ndibasaasaanyiza mu mpewo ennya, tewalibaawo ggwanga abasibe b'e Elamu gye batalituuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndireeta ku Eramu empewo ennya, okuva mu bitundu ebina eby’eggulu; ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya, era tewaliba nsi n’emu abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndireeta ku Eramu empeewo ennya okuva mu bitundu ebina eby'eggulu; era ndibasaasaanyiza eri empeewo ezo zonna, era abo abagobebwa mu Eramu tewaliba ggwanga gye batalituuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikunsiza Elamu embuyaga eva ku njuyi zonna, ndisaasaanya abantu baayo, ne watabeera ggwanga na limu lye bataddukiddeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndireeta ku Eramu empewo ennya okuva mu njuyi zonna ez'eggulu, era ndibasaasaanyiza eri empewo ezo zonna; so tewaliba ggwanga abagobebwa aba Eramu gye batalituuka.