Jeremiah 49:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nditekemula Elamu mu maaso g'abalabe baabwe, mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe; ŋŋenda kubaleetera akabi n'obusungu bwange obwesera, Omukama y'agamba. Ndibawondera n'ekitala, okutuusa nga mbawemmentedde ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be, mu maaso gaabo abamunoonya okumutta; ndibatuusaako ekikangabwa, n’obusungu bwange obungi ennyo,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Ndibawondera n’ekitala okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe, ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe; era ndibaleetako obubi, obusungu bwange obungi, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalirawo ddala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndireetera ab'e Elamu okutya abalabe baabwe abaagala okubatta. Ndibatuusaako akabi mu busungu bwange obungi, era ndisindika amagye gye bali, okutuusa lwe ndibasaanyaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe: era ndibaleetako obubi, ekiruyi kyange, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalawo: