Jeremiah 49:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki ebiwonvu byo bikwegulumya, ebiwonvu byo ebittulukuka, ggwe omuwala omujeemu? Ggwe eyali yeesiga obugagga bwo ng'ogamba nti: ‘Ani anannumba?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe, ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu? Ggwe omuwala atali mwesigwa, weesiga obugagga bwo n’ogamba nti, ‘Ani alinnumba?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki mwenyumiriza olw'ebiwonvu byo ebikulukuta, ggwe omuwala atali mwesigwa eyeesiganga eby'obugagga bwe ng'ayogera nti, ‘Ani anaatulumba?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bantu mmwe abatali beesigwa, lwaki mwenyumiriza? Amaanyi gabawedde! Mwesigira ki obugagga bwammwe, nga mugamba nti: ‘Ani anaatulumba?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwaki ggwe okwenyumiririza ebiwonvu, ekiwonvu kyo ekikulukuta, ai omuwala adda ennyuma? eyeesiganga eby'obugagga bwo ng'ayogera nti Ani alijja gye ndi?