Jeremiah 49:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ŋŋenda kukuteera entiisa eriva mu bonna abakwetoolodde, Omukama Katonda w'Amagye y'agamba; mulifubutuka buli omu n'akwata lirye; tewaliba kukumiriza badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikuleetako entiisa, okuva mu abo bonna abakwetoolodde,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye. “Buli omu ku mmwe aligobebwa, era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndikuleetako entiisa, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye, okuva eri abo bonna abakwetoolodde; era muligobebwamu buli muntu aliviiramu ddala, so tewaliba akuŋŋaanya abo abadduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nja kubaleetera entiisa okuva mu bonna ababeetoolodde. Mwenna mulidduka ne wataba akumaakuma magye gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndikuleetako entiisa, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye okuva eri abo bonna abakwetoolodde; era muligobebwamu buli muntu okuviiramu ddala, so tewaliba wa kuluŋŋamya oyo awaba.