Jeremiah 49:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyokka oluvannyuma ndikomyawo abasibe b'Ammoni, Omukama y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oluvannyuma ndizzaawo emikisa gy'abaana ba Amoni, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye oluvannyuma ndizzaawo ebirungi by'Abammoni. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oluvannyuma ndikomyawo obusibe bw'abaana ba Amoni, bw'ayogera Mukama.