Jeremiah 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muyiteeyite mu nguudo za Yeruzaalemu, mwekalirize, mwekkaanye, munoonye mu mpya zaamu; bwe musangamu omu bw'ati omwesimbu anoonya amazima, kale ekibuga ekyo nnaakisaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi, tunulatunula olabe, noonya wonna we bakuŋŋaanira, bw’onoosanga omuntu omu bw’ati omwesimbu ow’amazima, nnaasonyiwa ekibuga kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mudduke eruuyi n'eruuyi mu nguudo e'ze Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale nnaakisonyiwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Yerusaalemu mudduke nga mudda eno n'eri mu nguudo z'ekibuga kyammwe. Mutunuletunule mu bifo byakyo ebigazi, mulabe oba nga munaazuulamu wadde omuntu omu bw'ati akolera ku bwenkanya, era agoberera amazima, Mukama alyoke akisonyiwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muddukane eruuyi n'eruuyi mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale naakisonyiwa.