Jeremiah 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwambuke mu mizabbibu gye mugyonoone, naye temugisaanyizaawo ddala. Muwawaaguleeko amatabi ge, kubanga si ga Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone, naye togimalirawo ddala. Giggyeeko amatabi gaagyo, kubanga si bantu ba Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muyite wakati mu mizeyituuni gye, mugizikirize, naye temugimalirawo ddala; muggyeewo amatabi gaagyo, kubanga si ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muyite mu nnimiro zaabwe ez'emizabbibu, muzizikirize, naye temuzisaanyizaawo ddala. Muwogoleko amatabi, kubanga si gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulinnye ku bbugwe waakyo, muzikirize; naye temukomekkerereza ddala: muggyeewo amatabi gaakyo: kubanga si ga Mukama.